Ssemujju agobeddwa ku bwa Nampala bwa FDC mu Palimenti, asikiziddwa Nsibambi

Omubaka wa munisipaari ye Kira mu palimenti Hon. Semujju Ibrahim Nganda akeredde mu kyobeera, oluvanyuma lw’ekiwandiiko ekimugoba ku kifo ky’obwaNampala bwa FDC mu palimenti okufulumizibwa.

Okusinziira ku kiwandiiko kino, kyawandiikiddwa Ssabawandiisi we kibiina Nathan Nandala Mafabi nga 7.08.2023, era ne kiwerezebwa omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Annet Anita Among, Omumyuka we, akulira FDC nabalala.

Kino kilaga nti Ssemujju agobeddwa mbagirawo okuva mu office ya Nampala wa FDC era nasikizibwa munnamateeka Yusufu Nsibambi omubaka we Mawokota South.

Nandala ategezezza mu kiwandiiko nti enkyukakyuka zino zitandikiddewo okukola mbagirawo, nga kitegeeza nti Ssemujju aba alina okwamuka offiisi eyamukwasibwa emyaka 2 ne kitundu emabega.

Bino we bijjidde nga waliwo okwelumaluma mu kibiina kya FDC nga abamu ku bakulu balumiriza banaabwe okufuna ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi 7 okuva mu kibiina kya NRM, zebagamba nti zaayingira ekibiina mu bukyamu.

Hon. Semujju tanafunika kubaako kyaddamu ku nsonga zino