Abakiise Bakubagany Empawa Kukiteeso kyo kusiima Museveni-Mukono
Bya: Hassan Bulesa
Wabadewo okuwanyisiganya ebigambo ebisongovu mu lukiiko lwa district ye Mukono ba kansala abamu webaleese ekiteeso ekisiima pulezidenti Museveni okulwanyisa ekirwadde kya corona virus mu ggwanga abamu nebakiwakanya nga bagamba sikyekiseera okumusima nga omuwendo gwabalwadde gulinya buli lunaku.
Olukiiko lwa ba kansala ba District ye Mukono olunaku lwa leero welutudde okusobola okuyisa embalirira yayo egenda okuyambako District eno okutuusa obuweereza eri abantu abagiberamu.
Mu lutuula luno abamu ku bakansala basazewo okuletamu ekiteso ekisima omukulembeze we ggwanga nga bwalwanye enyo okutasa abantu obutakwatibwa kirwadde kya corona virus era ekiteeso kino kiretedwa Hajji Asumani Muhumuza akiikirira ebizinga by’ekkoome.
Wabula ekiteso kino ekisiima pulezidenti kitabudde ba kansala nga bagamba kino kibeera kikyamu okumusiima nga abantu bongera kulwala nga ne mu Mukono enaku zino bagenda bakimamu abo abamaze okukafuna okuva kubavuga ebimottoka bya maguzi.
Bano bagamba nti abantu bangi mu kasera kano tebalina kyakulya oluvanyuma wokubagana obutakola nolwekya tebayinza kusinza pulezidenti nti akoze bulungi wabula sipiika wa district y’eMukono Emmanuel Mbonye era yaakikirila egombolola y’empatta bano abanukudde nti sibuli kimu nti omukulembeze we ggwanga yalina okikolako.
Minisitule y’ebyobulamu nga eri wamu ne Mukono District COVID-19 task force bakatwala abantu abalina ekirwadde kino bana okuva mu kibuga kye Mukonoo nga nabamu bali bamazze dda okusisikana nabantu be kibuga kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989