Luganda

Abasumba abawukanye mu Bufumbo Obutukuvu Mulekeraawo Okubuulirira abafumbo

Chaplain w’Omulabirizi w’e Mukono olwaleero  agattiddwa mu bufumbo Obutukuvu Bishop James William Ssebaggala n’ayambalira abantu abalemwa obufumbo Obutukuvu okulekeraawo okubuulirira abaagala okubuyingira.

Bino Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Mukono Ssebaggala asinzidde mu kugatta abagole bano ku Lutikko  y’Omutukuvu e ya Firipo ne Andereya e Mukono.

Wano w’ansinzidde n’ayambalira abantu abalemwa obufumbo obutukuvu okulekeraawo okubuulirira abaagala okubuyingira ekiretedde n’obufumbo okwonooneka kubanga abasinga tebatya Katonda.

Ono abadde agatta Rev. David Kuteesa nga ye Chaplain w’Omulabirizi w’e Mukono ne Rebecca Nampijja mu bufumbo obutukuvu era kwe kukubiriza abaagalana okwongeramu omukwano gwabwe eri omutonzi nannyini kubamba ggulu nga tekuli mpagi..

Mu ngeri y’emu akubirizza abaami okutegekera amaka gaabwe bulungi kubanga Abaana bafuuse ebizibu n’olwekyo bazaale abaana be banasobola okulabirira n’okuweesa Katonda ekitiibwa.

Bishop Ssebaggala era akuutidde banna Uganda okugondera ebiragiro bya Gavumenti bwe baba tebaagala kuddayo Ku muggalo.

Embaga eno yegattidwako abantu ba lubattu nnyo olw’ekirwadde kya Covid-19 omubadde Ba Canon, Bassabadiikoni, Abasumba, Ababuulizi, Omukubiriza w’Obulabirizi n’abafamire.

 

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989

For any financial support or sponsorship for this news website you can contribute on +256704290651

 

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
0
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Luganda