Abatuuze ku kyalo Bbanda Kyandaaza ekisangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono bakubiddwa echukwe olw’amawulire ag’ennaku agabatuuseeko ag’okufa kwa Maj. General mu magye ga Uganda Kasirye Ggwanga afudde olunaku olwaleero.
Bano ababadde bakulembeddwa abakozi ababadde bakola ku faamu ye,abakulembeze n’abantu ab’enjawulo boogedde ku mugenzi era ne batendereza emirimu gy’alese akoledde eggwanga lye nga kwogasse n’ettofaali lyalese agasse ku kyalo kw’abadde asula omuli okuwa abantu emirimu ate era n’okwagazisa abavubuka okukola.
Abamu ku babadde abakozi ku faamu ya kasirye ggwanga banyonyodde nga bwe bafiiriddwa omuntu abadde empagi luwagga mu bulamu bwabwe alese abayigirizza eby’obulimi,okulwanirira obutonde bw’ensi ate ng’abadde muntu ow’amazima atatya kukyayibwa olw’okwogera amazima.
Ssentebe w’ekyalo kino Margret Nakayima anyonyodde ng’omugenzi bw’abadde omusajja omukambwe ayagala ennyo abantu abakozi era ng’ ayambye nnyo okulwanyisa obumenyi bw’amateeka ku kyalo kino.
Omubaka ow’amaserengeta ga Mukono Johnson Muyanja Ssenyonga akiikirira ekitundu Omugenzi Kasirye Gwanga kw’abadde asula mu palamenti agambye nti omugenzi agenda kujjukirwa nnyo ng’omuntu abadde ayagala obwakabaka bwa buganda era ng’abadde muwabuzi ow’omuggundu mu ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989
For any financial support or sponsorship for this news website you can contribute on +256704290651