Amyuka owe Ggombolola lye Nakisunga e Mukono Awonye Okugajambulwa Bamulekwa lwa Kwekobaana Kutunda Takka Lyabwe

Wabadewo vvawo mpitewo ku kyaalo Banda _Kyandaaza ekisangibwa mu ggombolola ye Nakisunga e Mukono bamulekwa bomujaasi wa UPDF sgt. Kato Matiya bwe batabukide Barbra Ndagire agambibwa okuba nanyini  taka era nga y’amyuka sentebe we ggombolola ye Nakisunga e Mukono lwa kwe kobaana nabamu ku bakungu ku district ye Mukono nabaguza ekibanja kya kitabwe eyafa mu 1995, etakka lino liwezaako yiika satu.

Bwe tutukide ku taka tusanze Barbra Ndangire ne beyaliguziza nga ali mu ku  balaga we bayina okuyisa ekubbo nga liyina kuyita mu bijja bya bamulekwa nga wano we batandikide okuwanyisinganya ebisongovu era nanyini takka olulabye banamawulire natandika okutukolako olutalo okukakana nga emu ku kamera zaffe ajononye.

Bamulekwa bomugenzi ababade bakaaba nga bakulembedwamu Mbabazi Rose ne Muwanguzi Alex bategezeza nga bwe bakulide ku kibanja kino era we baziika ne bajjajjabwe wabula kibewunyisa okulaba nga babegaana nga bwe batabanyi era kye bakola gwa kubatunda kubamalawo.

Ye namwandu Joyce Nyilandegeya gwe bali mu kugobaganya agamba nti ebanga lyona abaana abazalide ku kibanja kino era yebuza nti anadawa mu kiseera kino, kubanga ekibanja kyabwe kitundidwa kyona okukimalawo. Bano basaba buyambi eri bekikwatako okubayamba ku nyigilizibwa kuno.

Kyeswa jimmy nga ye sentebe we kyaalo Banda Kyandaaza agamba nga ojeeko okuba  omukulembeze atugambye nga bwe yakula nga alaba bajjaaja ba baana bano nga bali ku takka lino, era nga ensonga zatuukako ne mu kakiiko kekyaalo wabula omumyuka we ggombolola Barbra Ndagire yanyomoola akakiiko ke kyaalo era ne basalawo  okubasindika mu babasinga.

Ensonga zino zomaze emyaka mingi mu ofiisi y’omubaka wa gavunenti e Mukono, era mu kwogerako naye Fred Bamwiine atutegezeza nga ebyo byona ebikolebwa Nanyini takka abikola mu bukyaamu kubanga minista yayimiliza ensonga ze takka mu kaseera covid 19, ono wakuwandikila omudumizi wa poliisi okunonyereza ku kavuyo kano.

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989