Ekibba Ttaka mu Ssaza lye Kyaggwe – Minisita Mariam Nkalubo akunyizza Abakungu
Bya: Hassan Bulesa
Minisita weby’ettaka, bulungi bwansi n’okwekulakulanya mu bwakabaka bwa buganda Owek: Mariam Mayanja Nkalubo abitademu engatto okugenda mu ssaza ly’eKyaggwe okulaba nga ataasa ettaka ly’obwakabaka abantu lye babadde batandise okunyaga mu mugalo guno ogwaava ku kilwadde ki covid19.
Owek: Mariam Mayanja Nkalubo omurimu gw’okutaasa etaka ly’obwakabaka e’Kyaggwe agutandikidde ku kyalo kya Namyoya ekisangibwa e’Nakifuma mu District ye Mukono nga eno asanze ettaka elyali liweza yiika 50 baamala dda okulisalamu bu poloti nga n’emiti egyali jisimbidwako bagitemawo dda nga kati mulimu mere.
Ngaali ku kyalo kino awalirizidwa okuteeka ku ninga abaami b’omuluka guno okunyonyola baani abediza ettaka lino nebatandika n’okuteekamu obuyinja ate nga bamanyi lya bwakabaka.
Oluvudde wano nayolekera e’Namaliri ekisangibwa mu ggombolola ye Kasawo nga eno asanze wiiki ewedde waaliwo abantu abajja nebatundako yiika emu era abaagula babadde bamazze nokulimawo n’ebimotoka biweetiye nga bagenda kusimbawo e birime.
Era wano akola nga kalondozi asaanze akaseera akazibu okunyonyola engeri ettaka lino okutuka okutwalibwa nga ye tamanyi
Babadde bakyaali wano ate nebafuna esimu nga waliwo abantu abagenda okugula ettaka ly’ekitawuluzi mu kasera kano ku kyalo Wanjeyo mu ggombolola ye Kimenyedde era bawaliriziddwa okutuukayo wabula bagenze okutuuka nga abatuuze bamazze okubagoba.
Ssekiboobo Elijah Bogere agamba nti mu mugalo eggwanga gweririmu baatekawo akakiiko akenjawulo okulondoola ekibba ttaka era yensonga lwaki basobodde okuzula abo ababadde batandise okulibbaMu bifo ebimu balese nga bataddewo ebipande ebiraga nti ettaka lino lya bwakabaka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989