Ekkanisa egenda kuwagira Pulojekiti ye Binazi e Buvuma, Omulabirizi Kagodo yeeyamye

Omulabirizi we Mukono Kitaffe mu Katonda Enos Kitto Kagodo asanyukidde omulimu omulungi ogukoleddwa abantu abawangaalira ku bizinga , nasuubiza okwongera amaanyi mu projects z’Obulabirizi naddala eziri mu kitundu kino era agamba  nti baakulaba nga bafuna kkampuni ekola ku binazi mu kitundu kino .

Okwogera bino Omulabirizi asinzidde ku bizinga e Buvuma ku bugenyi bwe obusokedde ddala bukyanga atuuzibwa ng’Omulabirizi ow’okutaano ow’Obulabirizi bwe Mukono nga yawereddwako ba Canon, Bassaabadiikoni n’abwereza mu Kkanisa ab’enjawulo.

Abamu ku basumba abawetrekeddeko omulabiriuzi we Mukono E Buvuma

Omusumba Brain Kiggundu atwaala Obusumba bw’e Buvuma yategezeza Omulabirizi nti obuzibu bwe basinga okusanga mu kulima ku bizinga mwe muli  enkima ezijja ne zonoona ebirime,  ebiswa ebimeruka buli kaseera mu nnimiro , emisota wamu n’embwa n’asaba Omulabirizi okubakwatirako okufuna eddagala elitta ebiswa saako okusasula abakozi abakola mu pulojekiti ze kkanisa.

Mubiru Patrick nga y’amyuka omubaka wa President mu kitundu kino  yagambye nti kya ssanyu Omulabirizi n’abaweereza okukyaala ko mu Buvuma okulaba ku mirimu egikolebwayo n’okuzaamu abantu amaanyi era asinzidde wano n’asaba Omulabirizi okwongera amanyi mu kubuulira enjiri ya katonda kubanga abantu abawangaalirayo balina enyotta yamaanyi eye kigambo kya katonda.

Ekizinga ky’e Buvuma kikolebwa ebizinga 51 era nga entambula yeemu kubisomooza ebisinga mu kitundu kino.