Engeri ekitongole kya SK Charity Foundation gye kiyambyemu abaana abatalina mwasirizi mu Greater Masaka
ABAANA abawerera ddala 2201 abatalina mwasirizi mu kitundu kya Greater Masaka omwaka guno bongedde okufuna essuubi ly’okusomako oluvanyuma lw’ekitongole kya SK Charity Foundation okuvaayo okubaddukirira ne bisale bye ssomero.
Ekitongole kino tekikoma kukusasulira baana bisale bya massomero byokka, wabula kuliko ne bigenderako omuli okubagulira emifaliso, ebitabo, emmere, ssukaali nga kwotadde ne ntambula buli omu emutuusa ku ssomero gy’alina okusomera.
Salim Kisekka nga ye mutandisi wa SK Charity Foundation agamba nti kino yakikola okusobola okuzaamu esuubi eri emiti emito, nabo babeeko kye babeera mu biseera by’omumaaso saako n’okukyusa ebitundu gye bava.
Agamba nti ekitundu kye Masaka okuva lwe kyakosebwa ennyo obulwadde bwa mukenenya mu myaka gya 1990, ekitundu kino tekiddangamu kudda ngulu, era nga kilina bamulekwa bangi, nga kwotaddde n’obwavu obuyitiridde mu bazadde nga tebasobola kuwerera baana baabwe kusukka kibiina ky’amusanvu.
“Ekituufu abazadde abali mu kitundu kino abasinga be baana bamulekwa abafiirwako bazadde baabwe nga bakyali bato, ekitegeeza nti tebaasobola kusoma kugenda wala, nga kino kye kimu ku kivuddeko n’abaana be bazadde nano okukosebwa mu ngeri yeemu.
Ogenda okwesanga nga abazadde yadde baabalekera ebibanja ebinene naye olw’okuba baali bakyali bato nga tebasobola kubilabirira, abasinga kubo baabitunda ne bafunamu obusente obutono obutalina kye bwabayamba.
Bwe nakizuula nti eno yeemu ku nsonga lwaki embeera eri bweti mu kitundu gye nzaalibwa, ate nga nange ndi omu ku baakosebwa embeera eno, kwe kusalawo mbeeko kye nkola okusobola okukyusa ekitundu nga mpita mu kusomesa abaana.
Natandika mpola okuyambako nga omuntu era nagenda okulaba nga omuwendo gw’abalina obwetaavu gweyongera buli kadde, kwe kusalawo noonye ku buyambi okuva mu mikwano gyange nabo banyambeko tusobole okusitula omutindo gwa baana ne by’enjigiriza mu Greater Masaka.
Tulina amassomero ge tukolagana nago agawerera 20 okwetoloola Masaka eyawamu, era nga eno gye tusasulira abaana ebisale bye ssomero saako n’okubalabirira mu bulamu obw’abulijjo, tubagulira ebitabo, emifaliso, ebitanda kwe basula, emmere, ssukaali, Transport saako ne ka pocket Money.
Entekateeka ya SK Charity Foundation tetukoma ku mutendera gwa Primary na secondary, kyokka tubatwalira ddala ne mu matendekero agawaggulu ne bakuguka mu massomo ag’enjawulo ku ddaala elya Degree ne Diploma.
Tweyongerayo okubagoberera nga bamaze okusoma ne tubafunira ne mirimu mu bitongole eby’enjawulo ne bakola emirimu basobole okukyusa obulamu bwabwe, obw’abazadde baabwe saako ne bato baabwe” Kisekka bwe yagambye.