Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti ye Sembabule Mary Begumisa awaddeyo ensigo eri abalimi zibayambe mu kiseera kino nga sizoni ye nkuba etandise.
Mu ngeri yemu era Begumisa yawaddeyo obutebe 778 eri ebyalo 31 mu Gombolola ye Kawanda nga buno bugenda kuyambako ebyalo naddala mu biseera nga bafunye emikolo egibagattira awamu, nga emu ku ntekateeka zaalina okusobola okutuukiriza bye yeeyama nga anoonya obuwagizi obw’amutuusa mu bukulembeze.
Ono era yawaddeyo ensimbi obukadde 13 okuddabiriza essomero lya Gavumenti elya comprehensive SS elisangibwa mu gombolola ye Matete mu kawefube gw’alimu okusobola okusitula omutindo gwe bye njigiriza mu Sembabule.
Bwe yabadde ayogerako eri ba kkansala abakiika ku gombolola e Kawanda ku lw’okubiri, Begumisa yagambye nti mu kiseera kino ayagala kulaba nga Sembabule nayo evaayo okulabikako nga ebitundu ebilala ebikulakulanye, nagamba nti buli kye yasuubiza ng’asaba akalulu alina okulaba nga akituukiriza.
Ku nsonga ye nsigo yategezezza nti mu kiseera kino abantu baakikirira ayagala okulaba nga bonna baba ne mmere amala mu maka gaabwe saako n’eyokutunda basobole okufuna ensimbi ezibayamba okusomesa abaana saako n’okulabirira ab’omumaka gaabwe.
Yagasseeko nti obutebe bwe yagabye, kye kimu ku bisuubizo bye yasuubiza abatuuze nga kati ali mu kutuukiriza era nga buli kyalo mu Sembabule kigenda kufuna obutebe 25, nga project eno egenda kuwementa obukadde obusoba 400.
Ku nsonga y’okuddabiriza amassomero Begumisa yategezezza nti agenda kuyambako okusobola okulaba nga abayizi basomera mu mbeera ennungi.
Gye buvuddeko ono era yagaba Tractor egenda okuyamba abalimi mu kitundu kino okutumbula eby’obulimi saako n’okwaza emmere.
Abakulembeze be Buwanda baasiimye omubaka Begumisa, era ne bamwebaza n’okuyimirira mu paliment wakati mu kuyisa etteeka lye bisiyaga lye baagambye nti singa Presidenti Yoweri Kaguta Museveni alisaako omukono ligenda kuyamba okutaasa e Ggwanga okuwona okuzikirira.