Enyingiza mu maka; akulira ONC agabidde ab’eKalangala eby’okwekulakulanya nga balindirira Pulezidenti

Akulira offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM e Kyambogo Hajjat Hadijjah Namyalo awaddeyo ettu ly’okwekulakulanya eri abatuuze abasangibwa mu bizinga bye Kalangala mu kiseera nga beetegekera okukyala kw’omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku lw’okutaano.

Mu byawaddeyo mubaddemu embuzi ez’olulyo 20, ebyalaani 6, ebikozesebwa mu kuyonda enviiri ne bilala.

Bino abikwasizza abatuuze abasangibwa mu Town Council ye Kalangala.

Bwabadde abakwasa ebintu bino Namyalo ategezezza nti offiisi gy’akulembera elina omulimu gw’okulaba nga bannaUganda bakulakulana naddala nga batandikira mu maka gaabwe nga okulafubana kw’omukulembeze we Ggwanga bwe kuli.

Mu kusooka Hajjat Namyalo akulembeddemu abatuuze okuyonja ekibuga, omukulembeze wanatuukira nga kinyirira bulungi.

Pulezidenti Museveni asuubirwa okukyalako ku bizinga bye Kalangala ku lw’okutaano mu kulambula e Ggwanga kwalimu okusobola okulaba butya entekateeka za Gavumenti ez’okwekulakulanya bwe zitambula mu bannaUganda