Luganda

GAVUMENTI ESABIDDWA OKUTEEKA ABALIKO OBULEMU KU MWANJO MU NTEEKATEEKA ZAAYO EZ’OKWEKULAKULANYA

Gavumenti ya Uganda n’ebitongole byonna eby’obwannakyewa bisabiddwa okuteeka abantu abaliko obulemu ku mwanjo mu ntekateeka n’emisomo gyonna egitegekebwa egy’okwekulakulanya mu kaweefube ow’okulaba nga nabo babaako emirimu egy’enjawyulo gye beekolera mwe bayinza okugya ensimbi ez’okwerabirira mu kifo ky’okulera engalo.

Okusaba kuno kwakoleddwa  omuwabuzi ow’ensonga zonna ezaabaliko obulemu mu kitongole ekya Light for the world Ambrose Murangira bwe yabadde awaayo taani z’obuwunga 5 eri akakiiko akavunaanyizibwa ku kulwanyisa obulwadde bwa Covid 19 ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono ku mande.

Murangira yagambye nti abantu bangi abaliko obulemu abalina obusobozi okubaako emirimu gye beekolera era ng’ ensonga y’obutabakwaata ku mikono okubalaga ekkubo ne bye balina okukola y’e baviirako okwekukuma mu mayumba ekibaviirako okwelaba ng’abanafu.

“Kye twaagala kwe kulaba ng’abaliko obulemu nabo babaako bye beekolera ebiyingiza ensimbi wabula tulina obuzibu obw’okuba nti ebiseera ebisinga tuboolebwa era abasinga batulaba ng’abatalina busobozi bubaako kye twekolera,embeera eno bw’enaggwaawo, naffe tugya kusobola  okulabiriira famire zaffe n’okuddizibwamu esuubi.”Murangira bwe yagambye.

Yakalaatidde amyuka omubaka wa pulezidenti Richard Bwabye eyakwasiddwa emmere eno okulaba ng’ eweebwa abo bokka abaliko obulemu era n’asaba n’abakulembeze b’abaliko obulemu mu disitulikiti ez’enjawulo okulaba nga bafuna obuyambi basobole okuganyulwa mu nteekateeka zonna eza gavumenti omuli okubayigiriza eby’emikono,okubafunira obugaali,emmere n’enteekateeka endala zonna.

Ramadhan Lubowa ng’ono ye kkansala w’abaliko obulemu mu lukiiko lwa munisipaali y’e Mukono yanyonyodde nti omuwendo gw’abaliko obulemu e Mukono mu kiseera kino gweyongedde ku bitundu 70 ku buli kikumi, olw’abamu ku bazadde abatandise okubakukunula mu bisenge gye baali baabakwekwa oluvanyuma lw’okubulwa eky’okubaliisa.

“Kino kituyambye olw’enosnga nti tugenda kumanya ennamba entuufu ey’abantu abaliko obulemu tubeere n’obusobozi obubasakira ebintu ebimala,bangi ku bbo babadde tebafuna lwa nsonga nti tubadde tetubamanyi.Ekigendererwa kyaffe ky’ekyokulaba nti abantu bonna abaliko obulemu mu Mukono bayambibwa mu mbeera yonna obutabaako asigalira.

Ate ye amyuka RDC Richard Bwabye yeebazizza abakulembeze b’abaliko obulemu olw’okufaayo ennyo ku bantu baabwe be bakulembera nga babafunira emmere naddala mu kaseera kano ng’eggwanga ligezaako okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19, n’asaba n’abalala okubayigirako.

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989

For any financial support or sponsorship for this news website you can contribute on +256704290651

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
0
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Luganda