Luganda

Kaada wa NRM Adukiridde mina kibina Samuel Okoth e yali omukiise ku lukiiko olukulembera district ali obubi

Ekibinja kya bannakibiina ba NRM basonze ensimbi eziwerako ziyambeko mukusasula ebisale by’eddwaliro ebibanjibwa Samuel Okoth eyali  mukiise ku lukiiko lwa district ye Mukono.
Okoth yali akikiirira eggombolola ya Mpunge ku district okuva mu mwaka gwa 2011 – 2016 atawanyizibwa ekirwadde ky’okusanyalala era nga amaze ebbanga lya mwaka mulamba ng’ali mukujanjabibwa.
Ekibinja kikulembeddwamu Richard Kateregga Mivule, ng’ono yeyegwanyiza eky’obubaka bwa maserengeta ga Mukono,
Mivule agamba nti basobodde okuwaayo akatono kebalina nga akabonero akalaga obumu mu kibiina kyabwe.
Advert
Kateregga agamba nti Okoth yakola nnyo okutumbula ekibiina mu maserengeta ga Mukono era nga yanonyeza nnyo Pulezidenti Museveni akalulu mukulonda okuze kubaawo.
Agamba nti buvunanyizibwa bwaabwe nga abakulembeze b’e kibiina okuyamba wamu n’okuddukirira bannakibiina ababeera bakikoleredde era nga batekeddwa n’okubazamu amanyi okulaba nga babeera mu bulamu obweyagaza.
Newankubadde Okoth agenze okuba kumatu, naye akyasanga obuzibu mukwogera wamu n’okutegera ebyo ebibeera bimugambiddwa, Maama we Betty Nyasuna asiimye nnyo bannakibiina abo abakwatidde ku mutabanj we.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at ronaldkal2@gmail.com or Whatsapp +256774034989

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
0
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Luganda