Katemba e Mukono mu Kukwaata Amayembe

Bya: Hassan Bulesa

Abatuuze ku kyalo Kalebera ekisangibwa mu ggombolola ye Kyampisi mu district ye Mukono bakedde kweyiwa mu maka gamutuuze munabwe Wilberforce Kinene agambibwa okuleeta ebiteberezebwa okubeera ebyokoola ku kyalo kino

Abatuuze okutuuka kukino, kiddiridde abasawo b’ekinansi ababadde bazze okukwaata ebigambibwa okuba amayembe ku kyalo nebaagala okubagobawo okutuukiriza ekiragiro kyobutakungana wabula abatuuze beremye okukakana nga balangidde abasawuzi bano okubeera abafero.

Okusinzira ku Ssalongo Peter Lukwargo ng’ono gwebakwasizza okutambuza ensonga eno agamba nti basazewo okuleeta abasawo b’ekinansi okuzuula ekituufu ku bigambibwa okubeera amayembe ku kyalo oluvanyuma lw’abatuuze babiri buli omu okulumiriza munne nti yeyagaletta.

Bano olutuuse ku kyalo kino omusawo we kinansi David Ssesanga asoose kusomesa batuuze ababadde bakunganye mu bunji ekigambo amayembe kyekitegeeza nabagamba nti kubonna nga naye kwali tewali noomu asobola galaba namasoge nabasaba okukuma obuntu bulamu nga bakola ku nsonga zino.

Oluvanyuma lwokubasomesa omusawo we kinansi omulala ategerese nga ye Ssalongo Musonge nasaba abatuuze ababadde bakunganye okuva mukifo kino nti mukaseera kano aka COVID-19 kibeera kimenya mateeka nabategeeza nti ssentebe ajja kubabuulira ebinaaba bivudde mukukwata amayembe gano wabula abatuuze nebagana okuseguka.

Abasawo bano ab’ekinansi bagenze okulaba nga abatuuze baganye okuseguka kwekulinya emotoka zabwe okusobola okuva mukifo kino wabula abatuuze babawerekereza ebigambo ebisongozu era abamu bagezezaako nokutayiza emottoka yabwe.

Abasawo bategezeza abatuuze nti bwebanafuna empisa bajja kusobola okudda ku kyalo kino okubataasa kubigambibwa okubeera amayembe nga bali wamu ne poliisi.