Katikkiro Mayiga asiimye akulira ONC Hajjati Namyalo, obukadde 5 buwereddwayo okuyambako ku mpaka ze Bika bya Buganda

OMUKUUMA Ddamula wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza omukwono oguliwo wakati w’obwaKabaka ne offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM mu Ggwanga, n’asaba okwongera okutambulira awamu.

Mayiga okusiima kuno akukoze bwabadde ayaniriza akulira offiisi eno Hajjati Hadijjah Namyalo abadde yetabye mu kutongoza empaka ze mipiira gya massaza ga Buganda ag’omwaka 2023 mu Bulange e Mengo.

Agambye nti Buganda eyaniriza nnyo abantu naddala abawagira entekateeka z’obwaKabaka wano nasiima akulira ONC Hajjati Namyalo olw’okuvangayo mu buli nsonga yonna ekwata ku bye nkulakulana mu Buganda ne bye mizannyo.

Bwabadde ayogerako eri abetabye ku mukolo guno Hajjati Namyalo yebazizza Katikkiro gwayogeddeko nga omusajja omukozi nga buli kadde ateekawo entekateeka ez’ongera okugatta abantu ba Buganda.

“Njagala okukwebaza sebo Katikkiro olw’okulowozanga ku offiisi ya Ssentebe we kibiina kya NRM era nga ye Pulezidenti we Ggwanga mu buli kintu ekibeerawo wano, era tuwaddeyo obukadde 5 okuyambako mu ntekateeka eno.

Sebo tetugenda kukoma wano era ngenda kudda ku lw’okuna ne kitereke okuva ewa mukadde waffe Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, nga kino kijja kubaamu tikiti zaagulidde bazzukulu be basobole okwelabira ku mipiira gino nga gigenda mu maaso” Namyalo bwagambye.

Ono era ategezezza Katikkiro omulimu gw’aliiko okusobola okuggya abantu mu bwavu naddala mu bitundu bya Buganda nga yagutandikira mu bitundu bye Luwero.

“Ebintu ebyenjawulo sebo Katikkiro tubigabidde abantu ba Ssabasajja omuli enkoko ne mmere yaazo, embuzi ez’olulyo ne bilala nga omu ku kawefube wa ssentebe we kibiina okulaba nga abantu be beegobako obwavu” Bwe yayongeddeko.

Emipiira gye bika bya Baganda gigenda kuggulwawo mu kisaawe e Wankulukuku era nga Ssabasajja yenyini yasuubirwa okuba omugenyi omukulu.