kikafuuwe Gen. Muhoozi tajja kusikira kitaawe ku Bukulembeze bwa Ggwanga, Kabuleta

OMUKULEMBEZE we kibiina kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta agamba nti kikafuuwe mutabani w’omukulembeze we Ggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba okuddira kitawe Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu ntebbe y’obwaPulezidenti  nga bwakirowooza, kyagamba nti bannaUganda tebagenda kukkiriza.

Kabuleta agamba nti okusinziira embeera e Ggwanga gye lirimu omuli eby’enfuna okuba nti bili bubi, eby’obulamu nga amalwaliro ne bilala nga byonna bivudde ku kitaawe okuba nti ye ne banne tebafaayo, omutabani tasuubira nti waliwo munnaUganda akyetaaga okulaaba ku bukulembeze obuva mu nju emu.

Bwabadde ayogerako ne bannaMawulire mu lukiiko lwe kibiina olusoose okuva lwe yakwakibwa nga 28th  ogw’omwenda omwaka oguwedde naggalirwa, Kabuleta agambye nti akabinja ka Museveni ne mutabani we kasusse okweyagaliza buli kamu.

“Ensi Uganda yalwala dda buli kimu kilwadde kyova olaba nga buli kadde watondebwawo endwadde ezitalina kigendererwa, era waliwo akabinja akatondeddwawo ke bayita Eggye lya Muhoozi “Muhoozi’s Army” era bwe mulaba ku bantu abakalimu abakatembeeta mubagambe nti kye batambuza balinga abazinira n’okuyimbira ku ssanduuke y’omugenzi kubanga aba afudde nga tagenda kudda” Kabuleta bwe yagambye.

Yayongeddeko nti waliwo omwana ne kitaawe lwe balaga nti balinga abatakwatagana nagamba nti ebyo byabulimba nti kubanga bonna kye baliko kwe kulaba nti baavuwaza bannaUganda obutabaako na kantu konna olwo basigale nga be bokka balina ensimbi.

Ayongeddeko nti ate ye Omwana kisukkawo kubanga bwe wabaawo omuntu yenna ayogera ekintu ekimunyiiza amunona bunonyi namutulugunya nga kwatadde n’okumuggalira mu kkomera.

“Obukundi bwonna buno obutekebwawo obugenderera okusembeza mwana okumpi ne ntebbe tebulina makulu era tubagamba nti ssi Muhoozi yagenda ofuuka Pulezidenti, ssi Odrek Rwabogo nga bwe babitegeka wabula alina kuba muntu mulala nga alondeddwa abantu bonna ate mu nkola enambulukufu ey’amateeka” Kabuleta bwe yayongeddeko.

Yakinoganyizza nti abantu bangi bali mu makkomera awatali misango gibavunaanwa nagamba nti abantu abo bonna betaaga obwenkanya naasaba ebitongole by’okwerinda ne kitongole ekilamuzi okuyingira mu nsonga eno.

“ Bwe nail e Luzira nayogera n’abasibe bangi era ne nkitegeera nti bambi abasing kubo balangibwa bwemage, nga abamu ku bbo baasibwa nga tebawuliddwa bulungi olw’okubulwa bannamateeka abalala nga tebalina sente kusobola kugulirira balamuzi” bwe yagambye.

Ono yali yakwatibwa gye buvuddeko era nateebwa ku kakalu ka kkooti nga 14th December omwaka oguwedde nga mu kkomera yamalayo sabiiti 2 nnamba

 

 

,