Mwateekawa sente zetwabawa – Nambooze akunyizza abakakiiko ka Covid-19 -Mukono

Bya Hassan Bulesa

Akakiiko akalwanyisa ekirwadde kya COVID19 mu District ye Mukono kasanze akaseera akazibu okunnyonnyola ku nsimbi ezigambibwa nti zabaweebwa okuva mu gavumenti okukola emirimu nga muno mulimu ofiisi ya RDC, olukiiko olukulira ekirwadde (Covid19 Task force), ofiisi y’ebyobulamu saako ne ofiisi ya ssentebe wa District.

Kigambibwa nti parliament yayisa obuwumbi 36 ku gavumenti z’ebitundu  nga muno Mukono yafuna obukadde 165 obwa District, 18 nga bwa RDC okukola emilimu omuli n’okugula amafuta saako n’obukadde 55 bwakutambuza mirimu mu ofiisi. ye omubaka Nambooze zayagala okumanya kungeri gye zakozesebwamu kyokka ezimu kunsimbi zino bagamba nti tebazifunanga

Bino bibaddewo ku kitebe kya District ye’Mukono omubaka wa munisipaali ye’mukono Betty Nambooze Bakireke bwabadde azizaayo obukadde 20  ezari zabawebwa paliyamenti okusomesa abalonzi baabwe ku kilwadde kya COVID19 nga wanno ssentebe wa kakiiko kano era nga ye mubaka wa pulezidenti mu kitundu Fred Bamwine wamusambidde abayambeyo ku mafuta basobole okutambuuza emmere okuva mu ofiisi ya Ssabaminisita e’Kampala wamu n’okugitambuuza mu byalo bye’Mukono.

Nambooze agamba nti baayisa sente zino mu palimenti okuyamba obukiiko buno emirimu egye njawulo omuli n’okugula amafuta.

Wabula Nambooze ategeezezza nga bwayagala ensimbi zino zigulwemu emmere ewebwe abalwadde abali ku ddagala lya Mukenenya saako n’abakyala abali embuto  kubanga sente zari z’abantu era nga zirina kukolera bantu. Agenze mu maaso natiisatiisa nga bwagenda okusitula abantu abakeera ewuuwe nga bamusaba emmere abaleteere olukiiko luno babawe emmere, ekintu RDC Bamwine kyamulabudde nti tageza nakikola kubanga amannyi bulungi amateeka kye gagamba.

Kunsimbi obukadde 40 ezigambibwa okuweebwa bana NRM abaawagira eky’okukyusa ekkomo ku myaka gya pulezedenti, ono asabye abantu okuvaayo nga bwebavaayo ku bukadde 20, era naasaba buli mubaka eyazifunye okuzitwala mu kakiiko ka COVID19 aka District.

Andrew Ssenyonga Luzindana nga ye ssentebe wa District eno akukulumidde ababaka abakomyawo ensimbi olw’obukwakulizo bwebabateekako nategezza ng’ensimbi zino nabo bwebatazirinako buvunanyizibwa, ate n’obukadde obusoba mu 100 bwali tebulina kye buyinza kukola okusinzira ku milimu gye balina ate nga zariko obukwakulizo bungi nnyo.

Ku nsonga y’obukadde 20 okubukomyawo, agamba nti kino kitasinza omubaka kuba omuwendo gwa bantu abali mu kitundu  mungi okusinga bwamanyi nti era zino zibadde tezirina kyezibadde zigenda kumuyamba.

Yye James Nkata nga yakulira abakozi agamba obukadde 165 ezabawebwa bazikozesa bulungi nnyo era amuwadde ne lisiiti ebaddeko nti azizaayo ensimbi ekintu Nambooze kyawakanyiza nategezza nga CAO bwatalina kye yali amuwadde kyakomezawo nategezza nga sente zino bazikomyawo nga grant.