Obutakanya mu kuyisa embalirira ye kibuga Mukono

Bya: Hassan Bulesa

Obutakanya saako n’okwekaddaga bye byefuze olukiiko  lw’ekibuga Mukono mukuyisa embalirira ye kibuga kino  ey’obuwumbi 17 wali Ku jobiah hotel e’Mukono.

Abamu Ku bakansala okuli Ronald Senabulya   ne Robert Ssozi bekandazze nebava mu lukiiko nga bawakanya ekyokuyisa embalirila nga tebasoose gikubaganyako birowoozo.

Kino kiddiridde amyuka meeya Jamadah Kajjoba okwangya embalirira eyobuwumbi 17 eri bakansala basobole okujiyisa ekintu kye bawakanyiza era balambiddwako nga bafuluma era banno balumiriza sipiika Kiwuka Nsimbe okwekobaana nabakugu okuyisa embalirila eno mu makwetu.

Oluvanyuma avunanyizibwa Ku kakiiko keby’ensimbi Peter Nsamba asabye bankasala nga ayita mu sipiika okuyisa embalirira eno nti kubanga yetegerezeddwa.

Kansala Ssenabulya mukwogerako naye ategezezza bwabadde tasobola kusigala mu kanso kuyisa embalirira eno nti kuba tebadde mu mateeka ere atisizatisiza nga bwagenda okuwakanya byonna ebikoleddwa.

Ate kansala Ssozi agamba nti embalirira eno tebagikubaganyako birowoozo mu bukiiko bwabwe era nebalumiririza sipiika okuba nga bamuwadde ekyoja_mumiro okusobola okuyisizawo abakozi ba gavumenti diru zabwe.

Mukwanukula sipika ng ayogero ne The Scribe News yeganyi okuba nti yawereddwa omunsimbi okuyisa embalirira nategezza nga byebakoze byonna bwebibadde mu mateeka nga bagoberera ebiragiro bya minisitule eya gavumenti ezebitunu. Era alambuludde embalirira gye bayisinza.

Twaweebwa ebiwandiiko bisatu nga bitulagira okuyisa embalirira nga wande obukiiko buno tebutudde era ba kansala bonna baabifuna ku mikutu gimugatta bantu naye ndowooza okubitegeera kyekyaali ekizibu ky’abantu abamu. Sipiika byeyaggaseeko.

Ye meeya w’ekibuga kino George Fred Kagimu ategezezza nga embalirila bweyisiddwa mubulugi nga abakiise bonna battademu ebirowoozo byabwe.

Amyuka meeya agenze mu maaso nalambulula kumbalirira eyisiddwa nabiki byesinze okutunulirwa,wabula alaze obwerarilikirivu kungeri gye bagenda okufunamu sente olwembeera ya Covid 19 eri mu ggwanga.

Kinajjukirwa nti kanso endala zonna zaakoze enkola yeemu mukuyisa embaririla zaabye ez’omwaka gwebyensimbi 2020/2021 era nga bagoberera ekilagiro ekyaava ewa minisita owa gavumenti ezebitundu.

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989