Olugero lwa Leero, Akyajjukira Olugero Lwa Kintu ne Nambi
Edda ennyo waaliwo omusajja nga ye Kintu. Yali omu ku nsi. Yalina ente y’emu ng’omusulo gwayo gwanywa ate obusa bwayo nga ye mmere ye.Naye mu Lubaale ng a waliyo Kabaka Ggulu ng’alina abaana bangi ab’obuwala n’abobulenzi.
Naye lwali lumu abaana ba Ggulu ne bakkira ku Musoke , bwebaatuuka ku nsi ne balabako omuntu ng’alunda ente ye . Bo kwe kwewunya ennyo ! Omu kubo , Nambi kwe kumutuukirira n’amubuza nti “lwaki ali bw’omu ku nsi era nabiki by’alya ku nsi ” Ko Kintu nti “Omusulo gw’ente yange gwe nnywa ate obusa bwayo ye mmere yange .
Nambi n’awulira bubi n’ayagala asigale naye ng’atya .Kye yakola n’addayo sikulwa nga Musoke aggwa ku ggulu nga tanamweberekako. Naye yagenda ayiya engeri gy’ayinza okumuwonyamu ennaku .
Nambi lumu kwe kujja n’ abba ent e ya Kintu n’ agitwala mu ggulu n’asirika . Kintu bwe yannoonya ente ye nga tagirabako kwe kulowooza nti osanga omuwala eyalinnye Musoke ku ggulu yeyagitutte. Kintu olwalaba ku Musoke ku ggulu namwebagala ekiwummulo mu lubiri ewa Ggulu.
Bwe baamubuuza ky’ayagala ko ye nti “Anoonya ente ye ”. Amangu ago nga bamukwata nga bamutwala ewa Kabaka Ggulu. Nambi naye olwawulira nga waliwo omuntu gwe baleeta kwe kudduka bunnam biro n’atuula kumpi ne kitaawe .
Bababatuusa bati Kintu nga ne Nambi agaboolese. Era ye yasooka ng’amwaniriza nnyo ng’agamba kitaawe nti “ Taata ono omusajja gwe njagala okufumbirwa ” . Ggulu n’atayagala muwala we afumbirwe musajja atalabika bulungi. Ate ne Kintu teyayongerako nti anoonya mukazi . Munange bwe bwakeera enkya nga Ggulu awa Kintu ebigezo asobole okumulemesa muwala we.
Yasooka kumugamba nti agende alondobe ente ye mu ggana ly’e nte eriringa obuloolo. Kintu olw’esimba wabweru ati ekivuuvumira n’ekijja kimugwako ate ne kigenda kigwa ku nte ye . Olwo nga ngyawula mu ndala. Ekyokubiri Ggulu yagamba Kintu agende ayase ebibajjo by’olwazi abireete anti nga bye bikuma omuliro gwa Ggulu .
Olwali okutuka ku lwazi eggulu ne libwatuka olwazi ne lweyasaayasa ebibajjo Kintu n’akuŋŋanya n’aleeta Ekigezo ekyo kusatu kyali kya kukimira mazzi mu kisero .Kino olwali okutuka ku luzzi enjuki ne ziwemberera ekisero ne zikiteekako envumb o ng’amazzi tegasobola kuyiika .
Kintu n’asena amazzi n’agatwalira Ggulu. Ekigezo ekyokuna kyali kyakulya miwumbo gya mmere kikumi n’entamu z’enva kikumi n’ebita by’omwege kikumi .Kintu aba akyatangadde gye yakuba ammaaso ng’ekituli kino ng’apakiramu byonna bye baali bamuwadde nga yeesanya.
Olwamala ekituli ne kyeggala.Wano Ggulu kwe kukakasa nti Kintu si musajja wa kuzanya ng’amukkiriza awase Nambi. Kintu bwe baamukkiriza okuwasa Nambi bombi baasanyuka bya nsusso. Kitaabwe n’abakuutira bagende mangu sikulwa nga Walumbe abeesibako . Nabo bwe baakola.
Nambi ng’asiba bitooke nkonko , mbuzi nabuli kalonda yenna gwe yasobola okujjukira nga beebagala Musoke. Naye bw’atuuka ngamuli n’ajjukira nti yeerabidde obulo bw’enkoko ye ng’era agamba nti addayo kubukima. Kintu ng’amugaana , ye ng’a lema ! Bwe yadda ng’abupakula weyali abulesse naye aba addayo adduka, nga ku Walumbe ono! Ng’amwesibako amubuulire gy’alaga .
Nga Nambi akona . Munnange nga Walumbe yeesiba ku Nambi nti alina okumuwerekera . Nga bagenda bonna okutuuka ku nsi. Bwe baatuuka ku nsi Nambi n’atandika kuzaala baana . Akaana akaakulangamu nga Walumbe ajja akasaba mukoddomiiwe nti akamuwe kagende kamuweereze.
Ko Kintu nti “Nedda” Walumbe bwe bwatuukanga ekiro ng’a jja akabba ng’akalya. Kintu yagenda okulaba ng’ abaana be baggwawo , kwe kwesitula ne mukyalawe ne bagenda ewa Ggulu ne bamubuulira obuzibu bwabwe. Ko ye nti Kayiikuzi wuuyo agende amukime.
Kayikuuzi naye yali mutabani wa Ggulu era ng’amanyi Walumbe endya n’ensula. Olwatuuka ku nsi ng’agamba Nambi ne mukoddomi we nti abajjwa bange mubagambe nti bwe balaba ngoba Walumbe tebakuba endulu era mubaggalire munju.
Munnange nga Nambi ne Kintu bakola nga bwe baabagamba . Baba bali awo nga teriri busa anti nga Kayiikunzi asimbye ku Walumbe ng’emisinde giddiŋŋana.Abaana baagenda okulingiza nga balaba Walumbe bagenda ku mukwata .
O o ! Ne bakuba enduulu olw’essannyu. So W alumbe awulidde. Amangu ago nga yebbika mu kinnya. Nga Kayiikuuzi amugoberera nga naye akyesogga. Ate olwo Walumbe abbulukuse ate era bazzemu baabo Ttanda ate bwe baatuuka eyo ne lukoya Walumbe yali yasimadda ebinnya.
Walumbe ng’afuna ekinnya ekimu ng’asirikiramu Kayiikuuzi bwe yakoowa okunoonya Walumbe, kye yava addayo n’agamba Mukoddomi we nti “Kangira nzirayo ndidda olula. Mwasobezza nnyo obutaggalira baana mu nju” ! Bwatyo Walumbe ng’asigala ku nsi n’obukambwe bungi olw’okumuloopa.
Era okuva olwo atuga abaana ne bazukkulu ba Kintu mungeri nnyingi olusi bubenje, olulala mu ndwadde, abamu bagwa mu nnyanja. Ate ne Kayiikuuzi na buli kati taddanga ! .”
Omuwandisi ye Kajubi James Omuseenene