Olugero Lwa Leero, Aw’olwatuuka nga Waabawo Omussajja
AW’OLWATUUKA,nga waabawo omusajja ng’awasa bakazi be basatu nga bali mu maka ageegombesa kubanga ssemaka yali mugagga muvundu ng’alina n’ebiraalo by’ente. Kyokka mu nte zonna ze yalina mwalimu emu gye yayayagala okukira awava erinnyo anti yali nnene nzibu ate nga buli lw’ezaala ekubawo babiri.
Wabula omugagga ono wadde yalina amaka ageeyagaza naye ng’alina ekizibu anti teyalina mwana mulenzi kale muyite omusika. Bakyala be buli lwe baazaalanga nga bakubawo gannemeredde.
Kino kyali kimusuza akukunadde nga lumonde mu ttaka era yatambula mu balubaale bangi ng’ayagala afuneyo oluzaalo lw’ omwana omulenzi. Omusajja ono yalangirira nti “Omukazi alinzaalira omwana omulenzi ndimuwa ente yange kalibugondo”.
Abakyala be olwawulira okuweebwa ente kalibugondo ne bafuba buli omu okubba nga yagiwangula ate tebyali bya Nte yokka naye okuzaala omusiika kyali kitegeeza kuggwa mu bintu.
Bagamba nti Katonda agaba nga mulalu anti mukyalamukulu yafuna olubuto. Bwe yatuuka okuzaala kwe kugenda mu lusuku nga bulijjo ng’ayambibwako mulerwa n’akwata ekitooke asindike omwana.
Omwana agenda okugwa wansi nga mulenzi essanyu ne libula okumutta. Kyokka aba tannava mu zzaliro, okuwulira nga mu lubuto mulimu ekyekyusa era amangu ago n’akubawo omwana omulala nga muwala!
Eryali essanyu lyamufuukira amaziga kubanga yali azadde balongo ate ng’omulongo mu Buganda tasika. Kye yakola kwe kwegayirira mulerwa omwana omuwala amuleke mu kitooke batwaleko omulenzi gwe baba balaga bba.
Mulerwa yakkiriza bwe batyo ne batwalira ssemaka omulenzi nga bwe bamuyozaayoza okufuna omusika. Embuutu, amazina, ebyokulya n’ebyokunywa ebyali wali nga n’owemmindi asena.
Kyokka mulerwa ennaku yali emuluma olw’omwana gwe baali balese mu kitooke era yalaba tasobola kukigumiikiriza kwe kuddayo n’amunonayo n’amutwala ewuwe n’amukweka mu kisenge kye gye yamukuliza nga tamukkiriza kulaba bweru.
Ye kaddulubaale baamuwa ente kalibugondo wamma n’asagambiza nga akimezezza okw’enjala. Ekiseera kyayitawo n’abaana ne bakula olwo mulerwa n’akkirizanga muwalawe oli gwe yalonda okufulumanga ebweru akime amazzi n’okutyaba enku.
Lumu omuwala yali agenda ku luzzi n’asisinkana omulenzi gwe baamuzaala naye (muyite Wasswa) ng’alunda ente. Omulenzi olwalaba ku muwala n’amwagala ebitagambika era n’asigala ng’omutima gwe agututte.
Omukenzi yaatandika okumuliimisanga omuwala buli lwe yabanga agenda ku luzzi ne banyumyamu. Terwali olwo n’amwatulira nga bwe yali ayagala okumuwasa.
Omuwala mu kifo ky’okumuddamu yatandika kuyimba nti:
Oo Wasswa nga olimba Wasswa,
Oo Wasswa nga olimba Wasswa!
Baatuzaala babiri nga balongo Wasswa,
Maama n’andeka mu kitooke Wasswa,
Ng’aluubirira ente ya ssebo kalibugondo Wasswa,
Oo Wasswa nga olimba Wasswa
Oo Wasswa nga olimba Wasswa!
Omulenzi yawulira ng’atabuddwa kubanga omuwala bye yali ayimba yali tabitegeera. Yabuulira ku kitaawe nga bw’alina omuwala gw’ayagala okuwasa naye nti buli lw’amugamba ayimba ebitetegeerekeka.
Taata olw’omukwano gwe yalina eri mutabaniwe yamugamba nti bagende bombi ku ttale taata yeekweke mu kasiko awulire omuwala by’ayimba. Lyali teriri busa ng’omuwala ajja era omulenzi n’amubuuza nga bulijjo. Bwe yamugamba ku by’okumuwasa era omuwala n’ayimba akayimba kali n’atambula n’agenda.
Taata olwabiwulira ne bimutabula era kwe kulumba mulerwa omuwala we yali abeera n’abimubuuza. Mulerwa yamutottolera kaddulubaale bwe yaleka omuwala mu kitooke n’atwalako omulenzi asobole okufuna ente so nga yali azadde balongo.
Ssaalongo yanyiiga ebitagambika n’alumba Kaddulubaale n’amunenya nnyo olw’okumusubya ekitiibwa kya Ssaalongo ebbanga eryo lyonna.
Naleka Nalongo ente kalibugondo Ssalongo agimuggyeeko nga agaseeko n’ennyana zeyali ezadde wakati mu buswavu obw’ekitalo era nga bategeka na mikolo gya kumala balongo. Nga nkulabira, omukazi eyayaggala obugagga okusinga omwana!
Omuwandisi: MP Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989