Olugero lwa leero, lwa WAKAYIMA, WANGO NE SSEWAJJUBA

AWO olwatuuka, nga wabaawo abeemikwano basatu; Wakayima, Wango ne Ssewajjuba. Omukwano gwali gubasaza mu kabu era nga batambula bonna.

Olwali olwo  nga Wakayima anyiiza Wango era olwamala ng’adduka nga yeekukuma. Mu busungu obungi Wango kwe kusalawo alye Wakayima.

Kyokka olw’okuba yali amumanyi nti mugezi nnyo, yasalawo amukolere olukwe amugweko  amulye nga tategedde. Yatuukirira mukwano gwabwe Ssewajjuba  n’amutegeeza ku ntegeka ze yalina okwesasuza  ku Wakayima era n’amusaba amukette w’ali amubuulire mu ngeri Wakayima gy’atasobola kutegeera. Ssewajjuba yamusuubiza nti bw’anaalaba Wakayima we yeekukumye, ajja kuyimba ng’ayogera we yeekukumye, Wango agende amukwate.

Kyokka ne Wakayima  yali tatuulidde awo. Bwe yamala okunyiiza mukwano gwe n’amanya nti kati omukwano guweddewo era essaawa yonna amulya. Naye yatuukirira mukwano gwabwe Ssewajjuba n’amubbirako nga Wango bw’ayagala okumulya era n’amusaba  amukettere era amubbireko ng’alabye Wango, asobole okudduka okwetaasa.

Ssewajjuba  yasuubiza Wakayima nga bw’ajja okumukettera era ayimbe oluyimba olunaamulabula okudduka bw’anaalaba ku Wango. Kyokka jjukira ne Wango era naye yali amusuubiza okumutemyako ng’amubuulira Wakayima we yeekwese, agende amulye!

Munnange siikulwiseeyo, olunaku olw’okuliirako Wakayima nga lutuuka. Ssewajjuba bwe yalaba Wakayima nga yeekukumye mu kasonda kwe kuyimba ng’atemya ku Wango agende amulye. Yayimba nti:

Kiri mu nsonda,

Kiri mu nsonda.

Olwo Wango naye kwe kutandika okusooba ng’ayolekera ensonda gye bamugambye Wakayima gye yeekwese. Bwe yatandika okusooba ate Ssewajjuba n’akyusa oluyimba n’atandika okuyimba nti:

Wuuyo Ssekimwakimpi,

Wuuyo ajja asooba!

Wuuyo Ssekimwakimpi,

Wuuyo ajjja asooba!

Hoo Wakayima olwawulira oluyimba luno n’amanya nti Wango ajja kumulya era n’afubutuka n’awenyuka nga akaweewo! Wango yalumba mukwano gwe Ssewajjuba n’amutegeeza nga Wakayima bw’amuwulidde ng’ajja bwatyo n’adduka era n’amusaba addemu amulabule.

N’okutuusa leero Wango takwatanga Wakayima era Ssewajjuba naye omuwulira ng’ayimba ng’atemya ku Wango nti: Kiri mu nsonda,   kiri mu nsonda. Ate oluva awo n’omuwulira ng’alabula Wakayimanti: Wuuyo Ssekimwakimpi, wuuyo ajja asooba!

Nange awo we nalabira.

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989