Luganda

Omulabirizi we Mukono James William Ssebaggala Yenyamidde eri abo ababba ebintu ebirina Okuyamba abanaku

Omulabirizi we Mukono James William Ssebaggala yenyamidde olwa abakungu mu gavumenti ya Uganda ab’olubatu okwedisa ensimbi wamu n’emmere gyebalina okugabirwa abantu abatalina kyakulya mu COVID-19 nebitwalibwa ate abo abalinawo.

Okwogera bino Omulabirizi Ssebaggala abadde mukusaba okubaawo buli lwa Sande ku kitebe ky’Obulabirizi bw’eMukono obusangibwa mu kibuga kino bukyanga gavumenti eyimiriza okusinziza mu ma kkanisa.

Abetabye mu kusaba kuno

Omulabirizi yenyamidde nagamba nti abantu bangi bakoze ebintu mukizikiza nebatakiriza kutambulira mu musana ate abantu mu ggwanga bangi abasalaawo okubbawa ensimbi n’emmere erina okugabirwa abo abatalina nebitwalibwa abali obulungi.

Ssebaggala yenyamidde eri na bantu abakyaganyi okuva mukusamira netegeze nti bano nabo batambulira mubutamanya nga wadde abasinga obungi bagezezako okubabulira e kigambo kya Katonda wabula bangi kubo bakyali mu kizikiza.

Wabula Bishop Ssebaggala ayongeddeko nasaba abantu ba Katonda okwekwata ku Katonda  kubanga n’abakulembeze babwe baali kubirala ebitagasa muntu wawansi n’olwekyo kano kekasera badde eri Katonda okusinga okwekalakasa no kwetaba mu bintu ebitabagasa.

Rev Can Enosi Kitto Kagodo

Ye Provost wa Lutiiko y’Omutukuvu Firipo ne Andereya Rev Can Enosi Kitto Kagodo agambye newankubadde ebintu ebisinga batandiise okubigulaawo naye abantu bandirikeddewo obulagajavu kubanga obulwadde bukyaliwo ate nga buva mu bantu.

 

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editor@scribe.co.ug or Whatsapp +256774034989

For any financial support for this news website you can contribute on +256704290651

 

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
0
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Luganda