ABAKULIRA offiisi ya NRM national Chairman ONC e Mukono bakyaliddeko Ssentebe wa Bavubuka ba NRM mu Gombolola ye Kyampisi Kawuma Haruna nga ono mu kiseera kino alina ekilwadde ekimubala embiriizi.
Kawuma yalwala okugulu gye buvuddeko era ne kutandika okuvunda mpola mpola, nga mu kiseera kino ali ku ttaka.
Okusinziira ku maama we Faith Namuyiga yategezezza nti mutabani we obulwadde bwamukwata ne batasooka kulowooza nti kujja kusajjuka, wabula baagenda okulaba pkugulo kweyongera okuzimba ne kyaddirira kuvunda nga kati n’okutambula takyasobola.
Akulira ONC mu Greater Mukono Margret Nakavubu saako ne baddukanya nabo emirimu ku lw’okuna baakyaliddeko Kawuma mu maaka ga bazadde be agasangibwa ku kyalo Bunyiri mu gombolola ye Kyampisi e Mukono era ne bamuwa akakadde ke ssente (1,000.000) okuva mu offiisi ya Sentebe we Kibiina kya NRM e Kyambogo.
Nakavubu yagambye nti oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti Ssentebe ono mulwadde baategeeza akulira offiisi ya ONC Hajjat Hadijjah Namyalo eyabawadde sente omuvubuka waabwe asobole okujjanjabwa.
Yagambye nti bagenda kukwatagana ne Ssentebe wa bavubuka ba NRM e Mukono Mulamira Gashegu bongere okunoonya obuyambi obulala okusobola okulaba nga Kawuma ajjanjabibwa.
Kawuma yebazizza akulira ONC saako n’omukulembeze we Ggwanga okumuddukirira, nagamba nti kati afunye esuubi lyokujjanjabwa awonere ddala.
Mu kiseera kino yetaaga ensimbi ezisoba mu bukadde 10 alongoosebwe okugulu.