Business

Pulezidenti Museveni agguddewo olutalo lw’okulwanyisa obwavu mu Buganda, Hajjat Namyalo owa ONC yalukulembedde

Ebbanga lyonna pulezidenti Museveni abadde akyogera lwaatu nti banabyabufuzi wamu n’abakozi ba government abanafu nabali b’enguzi bebazingamizza enteekateeka za govumenti.

Enteekateeka nyingi zizze ziteekebwamu obutitimbe bw’ensimbi naye nga obwaavu tebulina jebulaga. Newankubadde nga waliwo enteekateeka nga Emyooga, Parish development Model naye era President Museveni asazeewo ayongere okwetuukira mu bantu nga ayita mu wofiisi ye ey’ebyobufuzi esangibwa e Kyambogo, nga ekulemberwa Hajjat Hadijjah Namyalo Uzeiye.

Mu nteekateeka eyanjuddwa olwaleero nga etandikidde mu District ye Luworo, President Museveni wakugabira abatuuze abanaabanga balondeddwamu enkoko 200 buli maka, emmere yokuziriisa okutuusa nga zikuze, eddagala elyokuzijjanjaba paka nga zikuze. Takomye awo, wakugatakko embuzi ez’olulyo 80 mu buli saza, nga buli maka gakufuna embuzi bbiri enduusi wamu ne nnume.

Okusinziira ku Hajjat Hadijja, enteekateeka eno yakugenda mu maaso mu bitundu ebirala nga president bwanaaba amulagidde.

Abatuuze balaze essanyu olw’enkola eyitiddwaamu okubatuusako ebintu bino nga bagamba eraga obwerufu ate terwiisa. Era bebazizza nnyo president Museveni olwokujjukira nabaleteera enteekateeka eno jebagamba egenda kubajja mu bwaavu.

Hajjat Hadijjah ategezezza abantu nti ye teyajja kutuula mu wofiusi wabula president yamulagira kunonya biki ebiruma abantu, era wakugenda mu maaso n’okuleeta enteekateeka endaala zalaba nti ziyinza okujja abantu mu bwaavu azanjulire omukukembezze we ggwanga.

Era ategezezza nti mu 2026 abazzukulu ba museveni bakusimba mabegawe ewatali kweyawulamu

Abamu ku babaddewo era nga ye Ssentebe wa bavubuka mu ggwanga lyonna aba NRN Hajji Gadafi Nasuru agambye bukyanga nteekateeka zijja eno ebadde yaludde okulabika olwobulambulukufu obujirimu, asabye abafunye ebintu okubirabirira obulungi kubanga bafunye buli ekyetagisa.

Eyavuganya ku kaadi ya NRM mu Katikamu South Magara Patricia asiimye nnyo Hajjat Haddijja olw’okusokera e Luwero mu nteekateeka eno era nagamba nti mu 2026 alina esuubi ntu NRM wamu ne ne president Museveni bakuwangulira waggulu.

Omwogezi wa ONC mukyala Tibamwenda Brenda akasizza abantu nti enteekateeka eno yakuyamba nnyo era bajikwaate bulungi.

Okugaba ebintu kuno kuddamu enkya mu bitundu ebirala

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
0
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Business