OMUKULEMBEZE we Ggwanbga Yoweri Kaguta Museveni ayongedde amaanyi mu kawefube w’okugoba obwavu mu kitundu kya Buganda.
Abatuuze be Bukomansimbi be bamu ku baganyuddwa mu ntekateeka eno olw’aleero.
Ettu lyabwe Museveni yalitisse akulira Office of the NRM National Chairman e Kyambogo ONC, Hajjat Hadijjah Namyalo bwabadde abakyaliddeko.
Ono yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’olunaku lwa bakyala ne NRM’S/ NRA day olukwatiddwa ku ssomero lya bigasa Primary School mu disitrict ye Bukomansimbi.
Bwabadde ayogerako eri namungi w’omuntu akunganidde mu kisaawe kye ssomero lya Bigasa, Namyalo agambye nti asazeewo okuleetera abantu be Bukomansimbi ebintu bave mu bwavu, nga kino akikoze oluvanyuma lw’okuwulira okukaaba kwa batuuze nti ebintu ebiwerezebwa Gavumenmti tebituuka ku muntu wa wansi.
“Banaffe nga tujeeko okujagulizaako abakyala naye pulezidenti Museveni antumye okubalaba nti baagala nnyo, era antisse ekitereke kyammwe musobole okwejja mu bwavu.
Ndeese enkoko nga buli muntu bagenda kumuwa obukoko 200 ne mmere yaazo ensawo 15, embuzi High Breed buli muntu agenda kufuna 2, ebyalaani eri abatasobola kulima n’akulunda, abaana baffe abawala abakola mu saloon nabo mbaletedde ebyuma ebikola enviiri n’okusala basobole okwekulakulanya.
Ebintu bye tubawadde ssi byakutunda wabula mubikozese mwegobeko obwavu.
Ebintu ebibawereddwa tugenda kubigoberera okulabira ddala nti bikozesebwa bulungi, saako n’okulaba nti enkoko ne mbuzi bilabirirwa bulungi ababifunye” Namyalo bwe yagambye.
Mu kusooka omuyambi wa Pulezidenti yayaniriziddwa amyuka RDC we Bukomansimbi Pax Kalema, eyagambye nti abantu be Bukomansimbi bakyalina essuubi dfdene mu Pulezidenti Museveni, nagamba nti beetegefu okuddamu okumulonda mu 2026.
Akulira abakyala mu Disitulikiti Ms Ansilah Kavuma yalaze engeri abakyala mu Bukomansiombi gye bafubye okwejja mu bwavu, nagamba nti baasalawo buli pulogulaam ya Gavumenti okujenyigiramu obuterevu ntiu era abasing tebakyasabiriza nnyo basajja baabwe, ensonga ezisinga mu maka bazeekolerako.
Yanokoddeyo ensimbi ze myooga, PDM ne ndala nti zonna beekunga ne bazijjayo ne zikozesebwa emirimu okusobola okuna ensimbi ze bakozesa mu maka saako n’okuwerera abaana baabwe mu massomero.
Hajjati Namyalo yasoose kukyalirako omwami we Ssaza lye Buddu Pookino Jude Muleke, eyamwanirizza era ne beevumba akafubo, oluvanyuma ne boogerako ne bannamawulire.
Pookino Muleke yebazizza enkolagana eliwo wakati wa Ssentebe we kibiina kya NRM ne Buganda nagamba nti obwaKabaka tebusosola mu bantu.
Yasabye abavubukla okukola ennyo saako n’okufaayo ku bulamu bwabwe okusobola okwewala ekilwadde kya mukenenya ekitabuse ennyo mu bavubuka.