Tugenda kubayambako, akulira ONC Hajjat Namyalo agumizza bamakanika b’omuNdeba
AKULIRA ONC Hajjat Hadijja Namyalo olwalero asiibye mu Kibuga Kampala nga alambula ku bakozi be mirimu egy’enjawulo.
Ono amakanda agasimbye nnyo mu bamakanika be mmotoka mu kitundu kye Ndeeba mu Lubaga Division, era nga eno abantu ab’enjawulo bavuddeyo ne bamutegeeza ebizibu bye basanga nga bakola omulimu guno.
Bamutegezezza nti basanga obuzibu mu kufuna ebikozesebwa mu mirimu gyabwe omuli, Generators, tool boxes, Laptops/launch machines, Panel beating machines, Grinding and drilling machines, mechanic safety wears.
Abamu ku bakulembeze bategezezza nti beetaaga omukulembeze we Ggwanga abayambeko mu ngeri y’okuddayo okusoma basobole okukuguka mu kukanika emmotoka, nga bakozesa tekinologiya aliko kati basobole okutambula n’omutindo.
Bwabadde ayogerako gye bali Hajjati Namyalo ab’ebazizza okukola, nagamba nti ensi kati yetaaga omuntu nga alinamu ku sente mu nsawo obulamu ne butambula.
Yabategezezza nti ensonga zaabwe zonna agenda kuzitwala ewa Pulezident Museveni boss we asobole okuzisalira amagezi nti kubanga akimanyi nti omukulembeze talina kyayinza kulemererwa.
“Tugenda kubayambako, naye namwe mwetereze tulabe bwe tuyinza okutambulira awamu, era mufeeyo okwenyigira mu ntekateeka za Gavumenti endala kubanga sente ezo nazo zammwe” Namyalo bwe yagambye