Pulezidenti Museveni agenda kugabira abantu be Kayunga ebyapa 800, ONC yewomye omutwe mu ntekateeka eno

OMUKULEMBEZE we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kukwasa abantu be Kayunga ebyapa bye ttaka 800 ku lw’okuna wakati mu kutuukiriza ekisuubizo kye yakola mu 2018.

Pulezidenti yakyala mu Distulikiti ye Kayunga oluvanyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu nga bayita mu mubaka wabwe Aidah Erios Nantaba saako n’abakulembeze abalala nga bwe waaliwo abagagga abaali baagala okubasengula ku ttaka kwe bamaze emyaka emingi

Bino byaliwo mu Gombolola ye Kayonza ne Kitimbwa  e Kayunga era nga Pulezidenti oluvanyuma lw’okuwuliriza okukaaba kwa batuuze yasalawo okulagira Minisitule ye bye ttaka okutandika okukolera abatuuze bonna ebyapa buli omu asobole okufuna obwananyini ku ttaka lye.

Bwabadde mu lukiiko olutekateeka omukolo gw’okuwayo ebyapa eri abatuuze ku mande, Ssentebe wa Disitulikiti ye Kayunga Andrew Muwonge ategezezza nti bategese omukolo guno okusobola okusiima Pulezidenti Museveni olw’okufaayo okuyambako ku bantu be abatalina busobozi kwekolera ku biwandiiko bya ttaka saako n’okutuukiriza ekisuubizo kino kubanga kibadde kilindiriddwa nnyo okumala akaseera.

“Tumaze okukunga abantu bonna nga tukozesa abakozi baffe aba Gavumenti mu bitundu ebyo era nga tusuubira omugenyi waffe omukulu okuba akulira office of The National Chairman ONC, Hajjat Hadijjah Namyalo nga yagenda okukiikirira omukulembeze we Ggwanga.

Omukolo gugenda kubeera ku Kyalo Nkokonjeru ekisangibwa mu Gombolola ye Kitimbwa” Muwonge bwe yategezezza.

Yanyonyodde nti abakozi b’omuMinisitule ye bye ttaka be bagenda okukola omulimu gwonna nga bayambibwako ba Ssentebe be byalo okusobola okutambuza obulungi emirimu.

Akulira ONC mu Greater Mukono Margret Nakavubu yagambye nti guno gwe mukisa gwokka gwe balina okutandika okulaga ebilungi pulezidenti Museveni byakoledde e Gwanga Uganda are nga bilabika.

Guno ssi gewe mulundi ogusoose nga Pulezidenti agaba ebyapa gye buvuddeko yagabira abantu be Luwero ne Nakasongola mu kawefuba gwaliko ow’okunyweza abanaku ku ttaka kwe bawangalidde ebbanga eddene