EconomyBusiness

KATEREGGA MIVULE; Tugenda kutumbula eby’obulimi mu Mukono South

Richard Katerega Mivule ono nga yayagala okwesimbawo mu kifo ky’omubaka wa Palimenti mu kitundu kya Mukono South e mukono atandise kawefube w’okutumbula eby’obulimi mu kitundu kino.

Kateregga agamba nti eby’obulimi ye mpagi abantu bayagala okukiikirira kwe beekutte nga mu kiseera kino betaaga okuyambibwako okulaba nga batandika okufuna ku jjamba.

Mu kawefube ono  mwe yatandikidde okugaba ebbomba ezifuuyira ebilime n’omuddo agenda kutambulira mu Magombolola  omuli Mpatta, Mpunge, Nakisunga saako ne Koome.

 

“Tugenda kugaba ebbomba ezisoba mu 100 eri abalimu baffe era nga kati tutandiseeko, twagala okulaba nga abalimi baffe baganyulwa mu bye balima, tugenda kubafunira eddagala lye bilime, enkumbi saako n’obuyambi obw’enjawulo mu mbeera y’okubongeramu8 amaanyi mu kulima” Kateregga bwe yagambye bwe yabadde agabira abalimi ebbomba ezifuuyira e nyaanya abegattira mu kibiina Kya Ntunda Tomatoes growers Association ekisangibwa ku kyalo Ntunda mu Ggombolola ye Mpatta ku lw’okusatu.
Era yawaddeyo ebitabo n’ebikozesebwa ku massomero eri abamu ku baana ba mulekwa abatawanyizibwa mu by’okusoma n’ategezeza nti entekateeka zino zombi zakugendera ddala mu maaso mu kawefube we gw’aliko ow’okutumbula eby’obulimi, eby’obulunzi wamu n’ebyenjigiriza mu kitundu Kya mukono south.
Kinajjukirwa nti guno sigwemulundi ogusoose Kateregga okuwagira abalimi mu kitundu kino, gye buvuddeko yagaba  enkoko saako meere yaazo nga kati abalunzi emirimu gyabwe gitambula bulungi kubanga baatandika n’okufuna ku kasente.

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
1
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Economy