Luganda

Gavumenti etandise okukola enguudo mu Kibuga kye Mukono

Enkya ya leero, minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye atongoza okukola enguudo mu Mukono zino nga zigenda kuwemmenta obuwumbi bwa Uganda 134.

Ku nguudo zino kuliko oluva e Nassuuti okuyita e Nakabago, Ntawo okutuuka e Seeta, olwa Nabuti Nsuube okutuuka e Wantoni.

Mu kutongoza pulojekiti eno nga esasuliddwa banka y’ensi yonna, akulira abakozi mu municipality ye Mukono Francis Byabagambi akukkulimidde ba nnaMukono abatandise okulwanyisa pulojekiti eno n’ategeeza nti kino kyandizing’amya emikisa emirala egy’andiganyudde banna Mukono

omumyuka wa meeya wa Munisipaari ya Mukono Makumbi George William asabye minisita Kabuye okutuukirira ekitongole ekya UMEME ne NWSC kubanga okweganya kwabwe kuleetedde abakola okusooba.

Omukungu wa office of the National Chairman ONC antwala Munisipaari ya Mukono JB Wamala Ssalongo alaze obwetaavu eri bannabyabufuzi okuwagira entekateeka eziretebwa Gavumenti abantu bawansi basobole okuganyulwamu.

What's your reaction?

Excited
0
Happy
0
In Love
0
Not Sure
0
Silly
0

You may also like

Comments are closed.

More in:Luganda